Dataset Viewer
Auto-converted to Parquet Duplicate
headline
stringlengths
3
238
full_body
stringlengths
10
73.3k
Mubajje yatuuyanidde mu ttabamiruka
MUFTI Shaban Mubajje atuuyanidde mu ttabamiruka w’Abasiraamu ng’abamu ku basiraamu bamutadde ku nninga abannyonnyole ekyamutunza emmaali y’Obusiraamu.Ttabamiruka eyatudde ku Lwokuna ku kitebe kya UMSC ku Old Kampala yatandise na bunkenke abakiise abamu bwe baasanze ng’amannya gaabwe tegali ku lukalala lw’abakiise abaab...
Abantu bye bagamba
AbdulKarim Ojambo;Tusaba Allah y’aba alamula ensonga z’Obusiraamu abantu baziggyemu amagezi gaabwe n’okutegeera ate n’abakulembeze baffe abawe okutegeera okw’enjawulo.Abu Kasuntumayire; Obunkenke obuli ku kitebe ky’Obusiraamu bweyongera buli lukya ate abakulembeze balemeddwa okuvaayo okutangaaza ekigenda mu maaso.Habib...
Ebya mutabani wa Muzzanganda
KARIM Nsaada 48, omutuuze mu ttawuni y’e Bulanga, ekisangibwa mu disitulikiti y’e Luuka, era nga ye kitaawe w’omuwala Shadia Nangobi 26, agambibwa okuba nga yattiddwa bba mutabani w’omuggagga Wilson Mukiibi amanyiddwa nga Muzzanganda, ku Mmande ya wiiki eno, yakutte wansi ne waggulu ng’ayagala annyonnyolwe ensonga eyav...
Abantu bye bagamba
Nnaalongo Monica Nankwanga e Mutungo; Gavumenti esooke ezuule ensonga ez’enjawulo ezivaako abantu okuttihhana era bateekewo ebibonerezo ebikakali ku muntu gwe bazuula ng’asse munne.Steven Lugemwa Kabowa; Tusabe Mukama atutaase naye obutemu bususse. Abantu batwalira obulamu mu ngalo, etteeka lya tottanga abantu baalyera...
Ekirwadde ekipya ekiremesa omuntu okussa nga Covid kitiisizza ensi
ENSI ezzeemu ekyekango ekirala eky’ekirwadde ekifaanana ssennyiga wa Covid-19, ng’ono naye ssennyiga na kifuba ebiruma mu ngeri ey’amaanyi etamanyi biri ebyasooka.Ekyewuunyisa ate ekitongole ky’amawanga amagatte eky’ebyobulamu ekya, World Health Organization (WHO) kigamba nti obulwadde buno nabwo butandikidde China nga...
Siriimu yeeriisa nkuuli mu baana abawala
OKUNOONYEREZA kulaze nti akawuka ka siriimu keeyongedde okwegiriisa mu baana abawala, ekifuuse omuziziko ogw’amaanyi mu lutalo lw’okukalwanyisa.Lipooti y’ekitongole ekivunaanyizibwa ku siriimu mu ggwanga ekya Uganda Aids Commission ey’omwaka 2022, eraga nti ku bantu bataano abakwatibwa akawuka, abana baba bawala abali ...
Bavunaaniddwa kutwala bantu okukola obuddu
ABANTU basatu basimbiddwa mu kkooti ne bavunaanibwa okukukusa abantu nga babatwala mu mawanga g’Abawarabu okubafuula abaddu ekikontana n’amateeka agafuga eggwanga.Annet Namakula 47, omutuuze ku kyalo Ttula - Kawempe mu disitulikiti y’e Kampala, Elly Bilali Malisa 25, omutuuze w’e Mbuya Zzooni IV mu divizoni y’e Nakawa ...
Ssente zitabudde aba ttakisi ne nnannyini ppaaka
ABATTAKISI mu ppaaka y’e Mpereerwe, Namere – Kiteezi batabuse n’omugagga gwe baapangisaako ppaaka mwe bakolera ne beekalakaasa ekiwalirizza omubaka wa Pulezidenti okuyingira mu lutalo n’awa ebiragiro ku buli ludda.Olutalo lwavudde ku ssente 320,000/- ze bakuhhaanya buli lunaku ne basasula omugagga nga mu nnaku 30 babad...
Abantu bye boogera
Ediriisa Bwanika: Twagala nnannyini ttaka akkirize tusasule 200,000/-. Tetulina wadde ennusu. Embeera gye tulimu mbi nnyo nga twagala kuyambibwa naye tufa era tuli bubi tunyigirizibwa.Sulait Mayanja: Twagala kutuyamba batukendeereze ku ssente ate tutereeze n’obukulembeze naye embeera etunyiga. Buli omu akimanyi nti emb...
Bavunaaniddwa emisango 116
MANEJA wa kkampuni etwala abantu ku kyeyo eya Confab International General Trading akulukusizza amaziga mu kaguli ka kkooti e Mengo nga bamusomera emisango 116 wamune mukama we. Alumiriza mukama we okugula mmotoka (Benz) mu ssente ze yafuna okutwala abantu ku kyeyo.Ian Ssebuliba, akola nga maneja wamu ne Kassim Ssekanj...
Okukola oluguudo lwa Kira-Kasangati kuli mu ggiya
OKUKOLA oluguudo lwa Kira, Kasangati, Nangabo, Matugga, kuli mu ggiya, abaasasulwa we lulina okuyisibwa bali mu kumenya bizimbe kisoboozese omulimu okutambula obulungi.Omulimu guno gwatongozebwa Pulezideti Museveni mu 2021 bwe yali anoonya akalulu ng’omukolo gwali Kira. Ekitongole ky’ebyenguudo ekya UNRA kyasasula bann...
Sauna: Okugifunamu gipimire obudde, abasajja ebakosa
WADDE nga Sauna zirina emigaso ng’okutereeza ensusu, kyokka abakugu bagamba nti, omuntu bw’aziyitiriza ayinza okufuna obuzibu obuyinza n’okukuviirako okufa.Mu nkola entuufu, omuntu yandibadde teyeetaaga kugenda mu sauna mirundi gisukka ebiri mu wiiki. Bw’aba agendayo nnyo waakiri tegisukka mirundi esatu bw’oba toyagala...
Boogedde ku sauna
Muhammad Ssempijja: Sauna zino tezirondoddwa bulungi naddala embeera mwe zikolera kubanga bangi abazizimba bamala gakubirira. Zitadde obulamu bw’abantu mu katyabaga.Gavumenti esitukiremu etaase embeera Willy Ssenkuba: Bannannyini Sauna bazimba kanaggweeramu eyo nga bafa kimu kukola ssente. Kye tuva tufuna ezibaluka aba...
Omutaka Nsamba akoze enkyukakyuka mu bukulembeze bw’ekika ky’Engabi
OMUTAKA Nsamba Aloysius Lubega Magandaazi II akoze enkyukakyuka mu bukulembeze bw’ekika ky’Engabi mw’akyusirizza abadde katikkiro okumala emyaka egisukka mu 30 n’asaba abalondeddwa okukolera awamu okukulaakulanya ekika. Bwe yabadde abakwasa obuvunaanyizibwa buno, Nsamba yasinzidde ku ofiisi y’ekika e Kibuye mu lukiiko ...
Bamusibye myaka 2 ku gw’okugezaako okujjula ebitannaggya
OMUSAJJA eyagezaako okukwata omwana atanneetuuka omusango gumusse mu vvi n’akaligibwa emyaka ebiri mu nkomyo e Luzira. Sharif Twaha 64, ow’e Kazinga mu munisipaali y’e Nakawa yagezaako okutunuza omwana (amannya galekeddwa) ow’emyaka ena mu mbuga za sitaani. Bino byaliwo nga July 7, 2022, Twaha bwe yasangibwa ng’agezaak...
‘Mukomye ebikolwa eby’ekko’
FAAZA John Senkaali, asabye abantu abakola ebikolwa eby’ekko eri bannaabwe okukikomya beenenyeze Katonda asobole okulongoosa emitima gyabwe. Yabadde akuliddemu ekitambiro kya Mmisa y’okukuza olunaku lw’ekisomesa kya Christ The King ekisangibwa e Nabbingo mu Town Council y’e Kyengera. Fr. Senkaali ategeezezza nti ensang...
Sipiika alagidde ku bbeeyi ya gaasi
SIPIIKA wa Uganda, Annet Anita Among, alagidde kabineeti okukakasa nti ebbeeyi ya gaasi akozesebwa mu kufumba teri waggulu kisobozesa buli Munnayuganda okumwettanira. Kiddiridde gavumenti okuyimiriza okutema emiti n’okufumbira ku manda gye buvuddeko mu kaweefube w’okutaasa obutonde bw’ensi. Among bwe yabadde aggulawo o...
Poliisi yeezoobye n’abakozi ba Fine Spinners abaabadde beekalakaasa olw’obutasasulwa
POLIISI yeezoobye n’abakozi ba kkampuni ekola engoye eya Fine Spinners Uganda Ltd. e Bugoloobi abaabade beegugunga olw’okumala emyezi ebiri nga tebasasulwa musaala n’okubatema ssente za NSSF wabula nga teziteekebwayo. Abakozi bano baasazeeko ggeeti eyingira mu kkampuni eno nga tebakkiriza mmotoka yonna kuyingira. Wabul...
‘Enjiri ebuulirirwe mu nnyimba’
MU kaweefube w’okulwanyisa obutabanguko mu maka n’okukendeeza ku kusaasaana kw’akawuka akaleeta mukenenya, abakkiriza babuuliriddwa okubuulira enjiri ekyusa emitima gy’abantu nga bakozesa ennyimba n’emizannyo kiyambeko okukendeeza entalo mu maka ezivaako n’abantu okusaasaanya akawuka akaleeta mukenenya. Bino bibabuulir...
Ebyuma by’oku luguudo lw’e Ntebe biddaabirizibwa
EKITONGOLE ky’ebyenguudo ekya UNRA kitandise okuzza obuggya ebyuma Guard rails) ebyawulamu oluguudo lw’e Ntebe okuva ku nkulungo y’e Kibuye okutuuka ku y’e Zana. Kiddiridde bingi ku byuma bino okukoonebwa mmotoka ne bigooma ate ebirala ne biviirawo ddala. Abakozi abali ku mulimu guno abataayagadde kwatuukiriza mannya b...
Omuyimbi adduukiridde essomero n’ebitabo
OMWOGEZI w’ekibiina kya ‘To love Children Educational Foundation International’, Heather Nanteza ate nga muyimbi muto awadde essomero lya Bright View Nursery and Primary School erisangibwa e Gili Gili, Pokea mu disitulikiti ya Arua ebitabo 101 bibayambeko ku by’ensoma. Bino baabiwaddeyo ku Lwokusatu ng’ali wamu n’omuta...
Omukuumi akubye omuvubuka essasi lwa muwala
RICHARD Miiro 25, ow’e Buwaate mu Wakiso apooceza ku kitanda mu ddwaaliro e Mulago oluvannyuma lw’omukuumi okumukuba amasasi agaamumenye amagumba. Miiro yagambye nti entabwe yavudde ku muwala w’ebbaala gwe yaganza nga tamanyi nti alina enkolagana n’omukuumi ono. Yagambye nti yali anywera mu bbaala omuwala ono mw’aweere...
Don Wanyama atenderezza omulimu ogukolebwa abasomesa
AKULIRA kkampuni ya Vision Group, Don Wanyama atenderezza omulimu ogw’ettendo ogukolebwa abasomesa mu kugunjula abaana. Yabadde ku ssomero lya Mbarara High School, eriri ku musingi gw’Ekikristaayo. Yagambye nti abasomesa bateekeddwa okussibwamu ekitiibwa kubanga bakola omulimu munene nga buli muntu asomye ayita mu ngal...
Lukululana esaabadde emmotoka 3
TTULEERA eremeredde omugoba waayo n’esaabala emmotoka ssatu n’oluvannyuma n’eyingirira ekizimbe ky’amaduuka mu kabuga ke Kyabakuza e Masaka ku luguudo oluva e Masaka okudda e Mbarara. Ebintu ebibalirirwa mu bukadde bw’ensimbi bye byayonooneddwa.Florence Nabisere, omu ku baabaddewo yagambye nti ttuleera nnamba UAT 918M,...
Essomero omwafiiridde omwana baliggadde
AKULIRA ebyenjigiriza mu disitulikiti ye Lwengo, Joseph Mulumba aggadde essomero lya Coroh Children’s Foundation P/S, omuyizi eyawambiddwa bannannyini ssomero olw’ebbanja lya ffiizi lya 100,000/-, mwe yeetugidde.Yasabye abazadde obutatwala baana mu ssomero lino okutuusa nga bamaze okunoonyereza ekyabaddewo. Mulumba yal...
Waya z’amasannyalaze zikwasizza abavubuka 3
POLIISI y’e Luweero ekutte abavubuka basatu abagambibwa okusala waya z’amasannyalaze ku kyalo Kataasule mu muluka gw’e Kireku mu ggombolola y’e Kikyusa mu Luweero. Abaakwatiddwa ye, Joseph Miiro 23 nga muzimbi e Matugga, George Kakulu 32 nga naye muzimbi okuva e Namasuba ne Rogers Tashobya 35 nga musuubuzi mu zzooni ya...
Bannalotale balaze abatuuze omugaso gw’obuyonjo
ABA Rotary Club y’e Matugga mu kaweefubbe waabwe ow’okutumbula obuyonjo wamu n’okuweereza abantu bakoze bulungibwansi mu bifo ebyenjawulo mu Matugga. Nga bali wamu n’abakulembeze mu munisipaali ye Nansana, baatutte ekimotoka ekiyoola kasasiro era nga bakira abatuuze babikuhhaanyizaako kasasiro waabwe awatali kusasula w...
Yennyamidde olwa Bamasheikh abaweddemu eddiini
AKULIRA Bamaseeka mu masomero g’Abusha, Sheikh Abudul Kareem Matovu yennyamidde ku lw’Abasiraamu abaweddemu omwoyo gw’eddiini n’agamba nti kiraga ekifaananyi kibi eri emiti emito. Okwogera bino, yabadde aggulawo omuzikiti gwa Masjid Ali e Bombo Nkokonjeru ogwabazimbiddwa Bamasheikh okuva e Iganga nga bakolaganira wamu ...
Ab’e Mukono bakaaba lwa luguudo oluzzeemu okugwaamu
ENKUBA etonnya obutasalako eyonoonye ekkubo erigatta Kitega, Ddandira, Namumira, Nsuube, Wantoni okutuuka mu kibuga Mukono n’okuyita e Lweza. Abatuuze n’abakulembeze basobeddwa ne basalawo okussa emiti mu kkubo okutangira abantu okukozesa oluguudo luno nga batidde nti bandifuna obuzibu. Abakozesa ekkubo lino okusingira...
Abeebiso basattiza abatuuze b’e Mulago
ABABBI ab’ebiso abatambulira mu bibinja nga bwe babba n’okutuusa okubalabe ku abantu batadde ab’e Mulago ku bunkenke Abatuuze bagamba abamenyi b’amateeka bano tebakyaliko kiro oba misana abantu babateega n’emisana ttuku. Abamu kigambibwa baba bambadde mpale za poliisi oba ebikooti by’amagye.Ssentebe wa Kafeero zooni, S...
Abantu bye bagamba
David Mataama: Abazadde bakoze ky’amaanyi okuwagira abaana baabwe mu bumenyi bw’amateeka nga babagaanira ku ky’okwenyigira mu buzzi bw’emisango ne bateeka empalana ku bakulembeze.Benna Kobusingye: Ebitongole ebikuuma ddembe birina okukomya okutambulira mu yunifoomu nga bakola ebikwekweto bwe baba bakukwata bamenyi b’am...
Minisita Otafire alagidde ku by’ettaka e Kireka
OLUTALO lw’abatuuze ku ttaka ku ly’enkambi ya poliisi e Kireka n’ebitundu ebyetooloddewo lukyalanda, minisita Kahinda Otafire bwalagidde Ssaabaduumizi wa poliisi, Okoth Ochora akakkanye embeera y’obunkenke eri mu kitundu ekyo.Mu kiseera ky’ekimu akakiiko akakola ku ddembe ly’obuntu kawabudde abatuuze abaakatwalidde ens...
Maneja wa bbanka ali ku gwa kubba ssente za kasitoma ku akawunti
MANEJA wa bbanka ya Diamond Trust Bank (DTB) agambibwa okujingirira omukono gwa kasitoma n’aggyanga sente ku akawunti ye ng’akozesa ceeke ezisoba mu dollar 4,000 byongedde okumukalubirira omulamuzi bw’agaanyi okuddamu okuwulira okusaba kwe okw’okumweyimirira.Grace Busingye omutuuze w’e Kabowa maneja wa bbanka ya DTB ku...
EBISEERA EBYO...
KING Saha ye ssita akyasigaddewo mu baava mu kibiina kya Leone Island ekya Jose Chameleone. Gwali mwaka 2014, bayimbi banne abaali bakyasembyeyo okuva ewa Chameleone okwali; Guvnor Ace, Video Brown Mujaasi, AK 47 (awummule mirembe) n’eyali maneja wa Chamilli mu kadde ako, Sam Mukasa lwe beegatta ku kibiina kya Team No ...
End of preview. Expand in Data Studio
README.md exists but content is empty.
Downloads last month
10