Dataset Viewer
Auto-converted to Parquet Duplicate
id
stringlengths
5
8
speaker_id
stringclasses
8 values
text
stringlengths
30
15.8k
locale
stringclasses
1 value
gender
stringclasses
2 values
audio
audioduration (s)
2.33
1.4k
lug_449
4
Onaasaala e Juma ku Lwokutaano luno?
lug
Female
lug_422
4
Lumonde mmwagala nnyo naye ekibi alumisa ekikeeto.
lug
Female
lug_460
4
Lwaki abayizi tebaagala kwambala ssaati za kyenvu ku ssomero?
lug
Female
lug_448
4
Ku Bbalaza n'Olwokuna Abasiraamu batera okusiiba.
lug
Female
lug_414
4
Bwe twali tusoma baatunyumiza nti ennyanja Wamala yazaalibwa buzaalibwa.
lug
Female
lug_459
4
Lwaki langi ya kiragala y'esinga obungi ku nsi?
lug
Female
lug_423
4
Bw’oba oyagala omukyala azaalire kumukumu, nyiikira kumuliisa mmere ya Bukupa.
lug
Female
lug_421
4
Kizibu okulya Muwogo n'okkuta okuggyako nga bamuteeredde ku bijanjaalo.
lug
Female
lug_453
4
Kyasalibwawo nti buli lunaku lwa Mande lwa kwambala ssuuti.
lug
Female
lug_434
4
Ekitongole ky'enguudo mu Uganda ekya UNRA kiggaddewo oluguudo oluyita ku lutindo lw'e Karuma.
lug
Female
lug_455
4
Bazadde bange tebamanyi nti nazaalibwa mu Mwezi Gwamunaana.
lug
Female
lug_457
4
Mu Mwezi Gwekkumineebiri wabeerayo ebikujjuko bingi wano mu Uganda.
lug
Female
lug_444
4
Olunaku Olusooka mu mwaka abantu abasinga baluyingirira mu masinzizo.
lug
Female
lug_425
4
Ensujju mmere nnungi nnyo ku baana abato okuviira ddala ku myezi omukaaga.
lug
Female
lug_429
4
Nalya nnyo amayuuni nga nkyali mu kyalo naye kati ne bw'olimpisa ku mumwa sirikombako.
lug
Female
lug_408
4
E kibira kya Bwindi era kye kiriko n’ekkuumiro ly'ebisolo erya Bwindi Game Reserve.
lug
Female
lug_450
4
Ku Ssande Abakatoliki bonna babeera mu masinzizo kutendereza mutonzi.
lug
Female
lug_415
4
Olusozi Rwenzori lunene era waggulu waliyo Omuzira, abantu bangi bagendayo okululaba.
lug
Female
lug_451
4
Ku Lunaku Olwomukaaga, watera nnyo okubeerawo akatale k’omubuulo awo e Kawanda.
lug
Female
lug_411
4
Omugga Kiyira, ogwo gw'olaba ng'oli e Jinja ku lutindo gugendera ddala okutuuka mu nsi ya Misiri.
lug
Female
lug_431
4
Mmere ki esinga okulimwa e Masaka? E Masaka esinga kulimwayo Matooke era buli maka galina olusuku.
lug
Female
lug_407
4
Ekibira kya Mabira kye kisinga obunene mu Uganda era kigendera ddala ne kikoona ku Bikajjo bya Meta.
lug
Female
lug_441
4
Ku Lunaku lwa bamaama olubeerayo nga Kkumi na biri mu mwezi Gwokutaano omwami eka y'afumba.
lug
Female
lug_420
4
Amatooke y'emmere y'Abaganda enkulu era omugenyi bw'akyala ewuwo n'otalimuwa olwo olukyala talubala.
lug
Female
lug_409
4
Mu Uganda Equator eyita mu bifo bisatu, Kasese, e Kayabwe ne mu Nyanja Nalubaale.
lug
Female
lug_447
4
Omwezi Gwekkumineebiri nga lumu luba Lunaku lwa kutema mpenda ku ngeri akawuka ka mukenenya gye kalwanyisibwamu mu nsi yonna.
lug
Female
lug_446
4
Olunaku lw'Abajulizi tuba tujjukira abajulizi abattibwa Kabaka Mwanga nga bafiirira eddiini yaabwe.
lug
Female
lug_433
4
Ekibiina kya UMEA kyatandikibwawo omugenzi Omulangira Badru Kakungulu mu mwaka gwa lukumi mu lwenda mu asatu mu mukaaga.
lug
Female
lug_461
4
Twagenze eggulo mu bbaala ne ndaba omuwala alina ebbala eddene. Oluwewo. Kaawa w'ensangi zino akaawa bulala oba bassaamu ki?
lug
Female
lug_435
4
Abakulu b'ekitongole ky'omupiira mu ggwanga ekya FUFA bagenda kutalaaga eggwanga nga balambula ttiimu z'omupiira ez'enjawulo.
lug
Female
lug_410
4
Omugga Ssezzibwa gusangibwa mu Mukono era guliko n'ebiyiiriro nga bino okubigendako osasula mutwalo gwa nsimbi.
lug
Female
lug_436
4
Ekitongole ekiddukanya omupiira gw'ensero ekya FUBA kiraga nti kirina ttiimu nkaaga mu emu okuva mu masekkati ga Uganda.
lug
Female
lug_442
4
Olunaku lwa Ppaasika lwe Lunaku lwa Mazuukira ga Mukama waffe Yezu Kulisito era abantu balussaamu nnyo ekitiibwa.
lug
Female
lug_403
4
Mu bayimbi abasinga okusanyusa mu Uganda mulimu: Spice Diana, Sheeba Kalungi, Alien Skin, Vinkor ne Cindy Ssanyu.
lug
Female
lug_416
4
Olusozi Elgon lusangibwa ku nsalo ya Uganda ne Kenya era kigambibwa mbu lwakamala emyaka egisoba mu bukadde abiri mu buna ku nsi.
lug
Female
lug_426
4
Kw’olabira nti ono muntu Musiraamu, ye nnyambala, anti abasajja bambala makanzu ate abakyala hijaabu era ne bateekako n’akakaaya.
lug
Female
lug_438
4
Uganda yafuna obwetwaze mu lukumi mu lwenda nkaaga mu ebiri era buli nga Mwenda omwezi Ogw'ekkumi luba Lunaku lwa kuwummula nga tujjukira olunaku olwo olw'Ameefuga.
lug
Female
lug_404
4
Waliwo omuyimbi eyatandika ebyokuyimba ng’asoma n'amalako emisomo? Spice Diana y'omu ku bayimbi abaatandika okuyimba nga bakyasoma era ne bamalako emisomo gyabwe. Yagimalirako Makerere University.
lug
Female
lug_401
4
Muddusi ki omukyala Munnayuganda eyawangula emisinde gya mmita olunaana egya World Championship mu Doha? Nakaayi Halimah yazina amazina ng’awangudde emisinde gya mmita olunaana.
lug
Female
lug_430
4
Mmere ki Abaganda gye bassaamu ekitiibwa nga bafumba? Omuganda bw’aba awaata amatooke afukamira, okuginyiga afukamira n'okugabula era afukamira olwo kuba kussa kitiibwa mu mmere.
lug
Female
lug_400
4
Abaddusi abaleetedde Uganda emidaali mulimu: Joshua Cheptegei, John Akii-Bua, Stephen Kiprotich, Davis Kamoga, Jacob Kiplimo, Nakaayi Halimah, ne Peruth Chemutai.
lug
Female
lug_419
4
Mu Uganda mulimu emmere ey'enjawulo ate yonna mpoomu nga: amatooke, muwogo, lumonde, ensujju, obummonde obuzungu, amayuuni, kasooli, omuceere n’amayuuni.
lug
Female
lug_417
4
University ki esinga obukulu mu Uganda? Makerere University y'esinga obukulu mu Uganda era yatandika mu lukumi mu lwenda abiri mu ebiri ng'esomesa byamukono byokka omwali okuzimba, okubajja n'okukanika.
lug
Female
lug_418
4
Ssettendekero ki esinga obunene mu Uganda? Ssettendekero ya Makerere eri mu Kampala Wakati era etudde ku bugazi bwa yiika ebikumi bisatu, eno y'esinga obunene mu Uganda ne mu Afirika y’obugwanjuba yonna.
lug
Female
lug_437
4
Mu Uganda mulimu ennaku z'okuwummula eziwera, okugeza: Olunaku lw'Ameefuga, Olunaku lw'Abajulizi, Olunaku lwa Idd, Ssekukkulu, Ppaasika, Olunaku lw'Abakozi, Olusooka mu mwaka, n’Olunaku lw'Abazira.
lug
Female
lug_494
4
Lwali lumu engabi n’esanga eddiba ly’empologoma abayizzi lye baali baanise mu kasana okukala. Bwetyo engabi yalyambala era n’eyorekera mu kyalo gy’ebeera. Mu kutya, bonna abaaliwo badduka era yo n’esigala nga yeeyagala okukamala. Mu ssanyu eringi, yayimusa eddoboozi lyayo n’ekaaba, awo buli nsolo n’etegeera eddoboozi e...
lug
Female
lug_493
4
Omusege gwasanga obuzibu bw’otalabanga okukwata endiga olwokuba omulunzi waazo yali azifaako nnyo ng’ ali kumpi awo n’embwa ye. Naye olunaku lwali lumu ne gusanga eddiba ly’endiga eryali lisuuliddwa ebbali. Omusege kye gwakola nga gukwata ddiba eryo nga gulibikka ku mugongo gwalyo era nga gwetaba mu ndiga nga gubulira ...
lug
Female
lug_492
4
Lwali lumu mu biseera by’ekyeya, Wakibe ng’akimbiriza okuyita mu nnimiro ejjudde ebibala bya jjambula eyali abuulukuse ng’ali ku matabi waggulu. Awo n’agamba nti “Nfunye ekigenda okummalako enkalamata.” Yadda emabega n’asinziira n’adduka n’abuuka, wabula ekirimba teyasobola kukikwata. Yaddayo n’asinziira ekigere kimu, ...
lug
Female
lug_495
4
Lwali lumu nga munnansi ono eyali agenda mu kisu omwali ekibaata kye ng’asanga eggi eryali erya kyenvu nga litemagana. Bwe yalisitulamu ati nga lyonna lizitowa mu ngeri etali ya bulijjo. Yali agenda okulikasuka ati ng’alowooza nti bamuteze katego, n’ajjirwa ekirowoozo ekirala eky’okulitwala eka. Ekyamwewuunyisa kye kin...
lug
Female
lug_488
4
Enkuuka y’omwaka kivvulu ekimalako omwaka nga kitegekebwa aba CABASA FAMA, mu bikujjuko by'omwaka omuggya. Enkuuka y’omwaka etikkira omuwanguzi w'empaka z'ebibuuzo ebikwata ku Bwakabaka n'ennono za Buganda ezimala ebbanga ery'emyezi mukaaga era ng'ono atuumibwa Omuzira mu Bazira. Ekivvulu kireeta wamu abayimbi ba Bugan...
lug
Female
lug_467
4
Omuwanguzi w’Ekirabo ssemalabo mu Buyiiya bw’ebiyiiye ebiwandiike. Omuwanguzi ono owa nkumi bbiri abiri mu esatu ye Jon Fosse omuwandiisi mu ggwanga lya Norway. Ono yawandiika emizannyo n’engero ebituusa eddoboozi ly’abo abatasobola kweyogerera. Omulimu gw’ekitongole ekironda omuntu aba asinze buli mwaka si mwangu era ...
lug
Female
lug_496
4
Omusege ogwali omuyonta wamu n’omwana gw’endiga nga bigenda ku mugga gwe gumu. Omusege gwali guyimiridde ekyengulu ate ekiriga nga kiri wammangako. Omusege olw’okwagala okulya ekiriga gwatandika okwebuuzisa nti, “Lwaki osiikudde amazzi nga nnywa?” Ekiriga mu kutya okungi ne ky’anukula nti, “Naye laba ggwe oli eyo ngulu...
lug
Female
lug_499
4
Omusota gwali gwewalulira mu kibira ne gujja gutuuka ku dduuka ly’omubazzi. Gwewuunya nnyo masiini n’ebintu ebyenjawulo ebyaliyo, bwe gutyo ne gusalawo okuyingira munda mu dduuka. Guba gwesonseka guti munda, ne gwekoona ku fayiro. Fayiro n’egukwagulako ku lususu, era ne gunyiiga nnyo. Gwazimba ne guswakiira nga gwagala...
lug
Female
lug_481
4
Okubala kutandika na kuyiga kusengeka namba okuva kw'esembayo omuwendo omutono okweyongerayo mu maaso mu nziriŋŋana erinnya. Okuteeka namba mu nziriŋŋanya erinnya, tandikira ku esembayo obutono okutuuka ku esingayo obunene. Entandikwa y’ekibalangulo eri mu kuyiga kubala.Okubala kuba kusoma na kuwandiika namba enzijuvu:...
lug
Female
lug_491
4
Olwali olwo, mwami Wampologoma yali yeebasse nga wajja Wamusu omuto eyali adduka nga bwe yeetala, adda muno adda muli nga eno bw’amwetooloola, ekyazuukusa Wampologoma, eyali yeezizise ekibatu, bwatyo n’ayasama amumire. Wamusu yakaaba nti ”Woowe lindako Kabaka”: omulundi guno nsaba onsonyiwe, sirigenda kukyerabira, tewa...
lug
Female
lug_498
4
Awo olwatuuka, nga wabaawo Ssewazzike eyali yeemanyi engeri gye yakula emabega. Ye yali alowooza nti yakula bubi era tewasaana kulabwa, era bw’atyo n‘agezaako okubikkayo. Olwali olwo ng’alaba Wakibe ng’alina omukira omuwanvu, ogulabika obulungi. Yamukwatirwako ensaalwa n’atuuka n’okumubuuza oba asobola okumuwaako ku mu...
lug
Female
lug_497
4
Wambwa yali aziikula magumba ge n’agwa ku kyobugagga. Yali talabanga ku zzaabu mungi bwatyo. Yasanyuka nnyo era bwatyo n’ebyokulya n’abyerabira. Yatuula butuuzi awo n’atunuulira enkaliriza ekyobugagga, nga ateebereza ebintu enjolo by’ayinza okugulamu. Liba teriri busa, ekinyonyi ekyakula ne kiwola ky’abuuka ne kikka wa...
lug
Female
lug_489
4
Ekkuumiro ly'ebisolo erya Bwindi liri mu bukiikakkono bw'amaserengeta ga Uganda. Ekkuumiro kitundu ku kibira kya Bwindi era nga lisangibwa ku nsalo za Democratic Republic of Congo okuliraana Virunga National Park ne ku nsonda ya Albertine Rift. Litudde ku bugazi bwa sikweya kkiromita bisatu abiri mu emu nga gombi ga bi...
lug
Female
lug_478
4
Express Football Club, mu bumpi emannyiddwa nga Express, kkiraabu ya Uganda ey'omupiira okuva mu Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu era ekisinga obunene. Kiraabu eno emipiira gyayo egy'ewaka egisambira ku kisaawe kya Muteesa Owookubiri Wankulukuku Stadium. Express Efusi, abawagizi baayo basinga kugiyita kamunye emmyuf...
lug
Female
lug_464
4
Okufa kwa Nnaabakyala wa Bungereza, Queen Elizabeth kwaliwo mu mwezi Gwomwenda mu mwaka gwa nkumi bbiri mu abiri mu ebiri. Nnaabakyala wa Bungereza yafiira ku myaka kyenda mu mukaaga. Yafa nga munaana omwezi Ogwomwenda mu mwaka gwa nkumi bbiri abiri mu ebiri nga yaakamala ku Namulondo emyaka nsanvu. Abantu nkumi na nku...
lug
Female
lug_487
4
Embeera y'ettaka lya Uganda n'embeera y'obudde ey'ekitundu biwaddeyo omuwendo eri enkulaakulana y'ebyobulimi mu Ggwanga. Ebifo bya Uganda ebiwerako bibadde bifuna enkuba mpitirivu. Mu myaka egimu, ebitundu ebimu eby'omu Bukiikaddyo birina okusukka mu mmiri mmita kikumi mu ataano buli mwezi. Mu Bukiikakkono, waliyo ebis...
lug
Female
lug_477
4
Ensi ye sseŋŋendo ow'okusatu okuva ku njuba eno etuwa omusana. Ensi eno etwala emyaka kikumi miramba okwetooloola omusana gwaffe. Ensi ye pulaneti eyokusatu okuva ku Njuba era kye kintu kyokka eky’omu bwengula ekimanyiddwa okutereka obulamu. Wadde ng’amazzi amangi gasobola okusangibwa mu Nsengekera y’Enjuba yonna, Ensi...
lug
Female
lug_482
4
Al-Hajji Najibu Kivumbi munnamawulire omukuukuutivu, ayogerwako okutandika mu Yuganda pulogulaamu y'okunoonyereza, oluvannyuma n'egenda nga esaasaanira emikutu emirala, mu kusoosootola ebifa emitala w'amayanja. Ng'omu ku mikwano gya munnamawulire era munnabyabufuzi Kazibwe Bashir Mbaziira bwe baali abakozi ku laadiyo e...
lug
Female
lug_480
4
Gakuweebwa Charles Muwanga nga ayogera ku Empisa ez’Obuntubulamu. Okuyigiriza abaana empisa kitandikira ku nneeyisa ya muzadde oba omukuza. Ebika by’abazadde oba abakuza abasangibwa mu "entabaganyabantu" ey’akakyo kano bya mirundi essatu. Waliwo; Omuzadde oba Omukuza omwekkiriranyi. Omuzadde ono yeesuulirayo gwa naggam...
lug
Female
lug_462
4
Omuzannyi w’omupiira nakinku mu Brazil aziikiddwa mu bitiibwa leero oluvannyuma lw’okutambuza omubiri gwe okwetooloola Santos. Ku lwokubiri essanduuke omwali omubiri gwe yabikkibwako bendera y’eggwanga lya Brazil, n’etambuzibwa okwetooloola enguudo z’ekibuga kya Santos. Abawagizi ba kkiraabu ya Torcida Juvem baakulembe...
lug
Female
lug_472
4
Emmere eyataasanga Omuganda enjala 'ani akuwadde akatebe'. Abataabanga na mmere baayitibwanga banafu ku kyalo nga Buganda yeesasa n’okudduukirira abantu okuva mu bitundu ebirala abaalumbibwanga enjala. Kino kyawa Buganda obugagga bw’emmere nga kino kyesigama ku mbeera y’obudde ennungi omuli enkuba n’akasana ebiyamba eb...
lug
Female
lug_468
4
Mu Uganda emmere esinga okubeera ennyangu y’okufumba ate nga ya ssente ntono kyokka mwattu nga mpoomu ke Katogo. Nzijukira emirundi mingi nalabanga maama ng’awaata amatooke n’afumba n’ebinjanjaalo akatogo. Maama yafumbanga emmere eno ate ng’agiyiisa mu bwangu nnyo. Nze lwe nasooka okufumba akatogo, amatooke nagawaatira...
lug
Female
lug_463
4
Enkyuka y’embeera y’obudde ereetedde omugga okukosa abantu b’omu bukiikaddyo bwa Uganda. Mu mwezi Ogwokusatu mu mwaka gwa nkumi bbiri mu abiri, nnamutikkwa w’enkuba we yasalako ekitundu ky’e Kasese, abantu bangi baasigala tebalina nnyumba.Rehema Aryema Namale yali yagula ennyumba ye mu bukiikaddyo bwa Uganda nga yagigu...
lug
Female
lug_475
4
Ebyetaagisa okukola ebyoto bye bino: Amataffaali – okusinziira ku bunene bw’ekyoto kye weetaaga. Ettaka lya bulijjo ebitundu ana ku buli kikumi, bwe bu kalaayi bubiri. Enkulukuku ebitundu ataano ku buli kikumi , bwe bukalaayi busatu bw’oba ogifunye. Obusa ebitundu kkumi ku buli kikumi, akakalaayi kamu. Ebyo byonna obis...
lug
Female
lug_479
4
Eddembe ly'obuntu n'ebyokwerinda munda mu ggwanga. National Resistance Movement yajja mu buyinza ng'esuubiza okuzzaawo ebyokwerinda n'okuteeka ekitiibwa mu ddembe ly'obuntu. Mu butuufu, kino kiri mu nteekateeka ya National Resistance Movement eya ssemasonga ekkumi, nga Museveni bwe yakinogaanya mu kwogera kwe ng'alayir...
lug
Female
lug_476
4
Ekitooke kimera kikulu nnyo mu Buganda. Bwe bisimbibwa nga bingi, bikola ekiyitibwa olusuku. Mu Buganda tulina ebika by'ebitooke eby'enjawulo nga Nakitembe, Nakyetengu, Kayinja, Mpologoma, Kisansa, Musakala, Kivuuvu, Gonja, Ndiizi n'ebirala. Omulimi yenna bw'abeera asimba ekitooke ateekwa okufuna ekifo nga kigimu bulun...
lug
Female
lug_474
4
Omumenyi w’amateeka Farah Damji, yazaalibwa ng'ennaku z'omwezi mwenda, mu Gwomwenda mu lukumi mu lwenda nkaaga mu mukaaga. Abasinga obungi bamumanyi nga Farah Dan. Omukyala ono nzaalwa ya Uganda. Ebyembi mumenyi w'amateeka asingisiddwa emisango egiwerako. Mu gyo mulimu obufere wamu n’okumalako abantu emirembe mu Amerik...
lug
Female
lug_471
4
Ebimu ku bikwata ku Mutaka Ssebuggwaawo: SSebuggwaawo yawasa mangu ddala nga yaakamaliriza ebyokusoma. Yawasa ennaku z’omwezi nga kkumi na bbiri omwezi Gwo kubiri mu lukumi mu lwenda asatu mu mukaaga. Yalina emyaka abiri mu gumu olwa kitaawe omuto, Dawudi Nyondo okumuperereza okuwasa kubanga ye yamulinako obuvunaanyizi...
lug
Female
lug_1601
3
Famire ekwata kisooka mu kuteekateeka obulamu bw’omuntu obw’omu maaso
lug
Male
lug_1600
3
Bisatu bya munaana ebya munaana ziba ssatu.
lug
Male
lug_1682
3
Buli Musoga alina okwenyumiriza kwa maanyi mu Bwakyabazinga bwa Busoga.
lug
Male
lug_1691
3
Lumonde wange gwe nnakugambye okundeetera ali wa?
lug
Male
lug_1651
3
Eggwanga lya Rwanda lyagala nnyo okusosonkereza amawanga amalala.
lug
Male
lug_1614
3
Kkiro z’akawunga nguze bbiri naye eyookubiri akaveera kayulise era yonna n’eyiika ku ttaka.
lug
Male
lug_1674
3
Ekiggwa ky’abajulizi e Namugongo kifo eky’enkizo mu nzikiriza y’Abakatoliki.
lug
Male
lug_1694
3
Muwogo ono akaawa era tusaanye tumukaze tunaamukubamu akawunga.
lug
Male
lug_1602
3
Abaddusi okuva mu Afirika be batera okukwata ekifo ekisooka mu misinde gy’ensi yonna.
lug
Male
lug_1647
3
Abed Bwanika tasaana kuweebwa kkaadi ya kibiina kyaffe mu kulonda okuddako.
lug
Male
lug_1692
3
Ensujju y’ekiwaawo empoomera nnyo kubanga ebeera ekaluba bulungi.
lug
Male
lug_1673
3
Kampala kye kibuga kya Uganda ekikulu era kisangibwa mu kitundu ky’amasekkati ga Uganda.
lug
Male
lug_1687
3
Maama alya nnyo endaggu era buli lwe mbeera ŋŋenda mu kyalo nteekeddwa okuzimutwalira.
lug
Male
lug_1695
3
Leero tubadde tuteekeddwa kulya muceere naye ate maama aguze muwogo sso gwe tuba tufumba akatogo.
lug
Male
lug_1661
3
Idi Amini Dada kigambibwa nti teyasoma nnyo wabula yakulemberera Uganda emyaka mwenda.
lug
Male
lug_1646
3
Omubaka Joel Ssennyonyi ensonga z’oludda oluvuganya nze ndaba azikutte mu ngeri ematiza.
lug
Male
lug_1686
3
Emboozi ku bika by’emmere: Omwami wange ayagala nnyo akawunga naddala nga kazziddwako.
lug
Male
lug_1688
3
Buli lw’obeera ogenda okufumba omuceere olina okufuba okulaba nti amazzi ogapima bulungi.
lug
Male
lug_1644
3
Robert Kyagulanyi Ssentamu ataddewo enkyukakyuka nnene nnyo mu byobufuzi bya Uganda ku ludda oluvuganya gavumenti.
lug
Male
lug_1610
3
Nagula ente ttaano nga njagala kuzzaawo ekiraaro kyange wabula eyookutaano ababbi ne bagibba era kati nnoonya ssente kugula ndala.
lug
Male
lug_1607
3
Tulina emyezi kkumi n'ebiri mu mwaka naye Ogwekkumineebiri guyinza okuggwaako ng’omuntu talina ky’alaga nti ky’akoze mu myezi ekkumi n’ebiri gyonna.
lug
Male
lug_1690
3
Amayuuni gano malungi nnyo kubanga gakuumuuka bulungi era gawooma nnyo singa obeera ogafumbye katogo.
lug
Male
lug_1675
3
Olusozi Rwenzori lusangibwa ku nsalo ya Uganda ne Congo era lwe lusinga obuwanvu ku nsozi zonna eziri mu Uganda.
lug
Male
lug_1640
3
Lutikko y’e Lubaga: Eno era emanyiddwa nga St. Mary’s Cathedral Lubaga. Eno ye lutikko enkulu mu Budyankoni bwa Kampala.
lug
Male
lug_1611
3
Essomero lyange lirina ebibiina musanvu wabula ekyomusanvu enkuba eyatonnye eggulo yakiggyeeko akasolya era ne kikosa n’abaana mukaaga.
lug
Male
lug_1684
3
Nnyanja ki esinga obunene mu Buvanjuba bwa Afirika? Ennyanja Nnalubaale ye esinga obunene mu Buvanjuba bwa Afirika.
lug
Male
lug_1645
3
Omubaka Mathias Mpuuga obukadde ebitaano bwe yalya bwamuviirako okuggyibwa ku kifo ky’akulira oludda oluvuganya mu ppaalamenti.
lug
Male
End of preview. Expand in Data Studio

Waxal Luganda TTS (Cleaned)

A cleaned version of the Luganda TTS subset from Google's WaxalNLP dataset, preprocessed for fine-tuning text-to-speech models.

What changed from the original?

The original Waxal recordings contain click/pop artifacts at the start and end of audio clips (likely from the recording equipment). These transients degrade TTS model quality during fine-tuning.

This dataset applies Silero VAD (Voice Activity Detection) to precisely detect speech boundaries and trim non-speech regions, removing the clicks while preserving all spoken content.

Cleaning pipeline

Step Detail
VAD model Silero VAD
Speech threshold 0.3
Padding 30ms before/after detected speech
Fade in/out 3ms (prevents new edge artifacts)
Min speech duration 100ms
Min silence duration 30ms

Dataset details

Split Samples
Train 1,608
Validation 211
Test 205
Total 2,024
  • Language: Luganda (lug)
  • Sample rate: 48,000 Hz
  • Speakers: 8 (4 male, 4 female)
  • License: CC-BY-4.0 (inherited from WaxalNLP)

Speaker distribution

Speaker Gender Samples
1 Male 209
2 Male 214
3 Male 201
4 Female 192
5 Female 203
6 Female 192
7 Male 201
8 Male 196

Usage

from datasets import load_dataset

ds = load_dataset("Cal3bd3v/waxal-lug-clean")

# Access a sample
sample = ds["train"][0]
print(sample["text"])     # "Onaasaala e Juma ku Lwokutaano luno?"
print(sample["audio"])    # {'array': array([...]), 'sampling_rate': 48000}

Fine-tuning MMS-TTS

python train_tts.py --dataset-name Cal3bd3v/waxal-lug-clean --text-column text

Citation

If you use this dataset, please cite the original WaxalNLP paper:

@article{waxal2025,
  title={WAXAL: A Large-Scale Multilingual African Language Speech Corpus},
  author={Google Research},
  journal={arXiv preprint arXiv:2602.02734},
  year={2025}
}

Acknowledgments

  • Original data: Google WaxalNLP, collected by Makerere University and partners
  • Cleaning: Silero VAD for speech boundary detection
Downloads last month
80

Paper for CraneAILabs/waxal-lug-clean